Skip to content Skip to footer

Olutalo lw’emotoka lubaluseewo

File Photo: Omusilikale wa Police nga lambula emotoka
File Photo: Omusilikale wa Police nga lambula emotoka

Wabaluseewo obutakkaanya wakati wa gavumenti ya Tanzania n’eya Uganda ku motoka 23 ezabbibwa e Yuganda.

Emotoka zino zatundibwa mu Tanzania wakati w’omwaka gwa 2013 ne 2015.

Akulira poliisi y’ensi yonna mu Uganda Asan Kasingye agambye nti bafubye okuyita mu mateeka okununula emotoka zino kyokka nga bigaanye.

Ono agambye nti bamaze ebbanga nga balondoola amasimu gano kyokka nga batuuka n’okuzissaako enamba za Tanzania.

Kasingye yenyamidde olwa gavumenti ya Tanzania okukkiriza emotoka zino okuwandiisibwa kyokka nga bakimanyi nti ziba zibbiddwa.

Alipoota eyakolebwa poliisi eraga nti emotoka ezibbibwa mu Uganda zitundibwa mu Tanzania, South Sudan ne Democratic Republic eya  Congo.

Leave a comment

0.0/5