
Akutte bendera y’ekibiina kya PDP ku bukulembeze bw’eggwanga Dr. Abed Bwanika akakasizza abantu be Kiboga nti kavuna alya obuyinza abe Kiboga ne Kyanykwanzi tebajja kuddamu kujula mu byenjigiriza, mu byobulamu, ebyemirimu n’enguudo.
Bwanika bw’abadde ayogerako eri abe Kiboga agambye nti abalimi wakubawa ebikozesebwa okusobola okufunamu akawera mu kulina basobole okusomesa abaana baabwe n’okugaziya bizinensi zaabwe
Agamba nti bingi bijja kutuukibwaako ssinga ensimbi zissibwa mu kukola enguudo, amasomero n’amalwaliro