Bya Ivan Ssenabulya,
Minisitule evunanyizibwa ku byobulamu mu ggwanga erangiridde abalwadde abapya aba covid-19 69 okusinzira kubyavudde mu musaayi
Kati bannauganda abawera emitwalo 41,866 bebakasangibwa ne kirwadde songa abakafa bali 334 ate munsi yonna bali 3.17 ate abakakafuna munsi yonna obukadde 151.
Mu balwadde ba Uganda 69 abapya, Kampala bavudeyo (15) Moyo (8) Adjumani (8) Jinja (6) Oyam (6) Masaka (6) Mbale (4) Napak (3) Mukono (2) Kitgum (2) Moroto (2) Gulu (2) Sironko (1) Luwero (1) Soroti (1) Arua (1) Lamwo (1)
Bino webigidde nga minisitule eye byobulamu yakalabula bannauganda ku kawuka akapya akabuyanya amawanga aka covid nti ne wano kakuba dda koodi
Mu kawefube wokulwanyisa ekirwadde abantu 330,077 bebakagemwa wano mu ggwanga.