Bya Ruth Anderah.
kooti ejjulirirwamu wano mu kampala ekakasizza okulondebwa kwa minister omubeezi w’ebyobulamu Sarah Opendi ng’omubaka omukyala owa district ye Tororo
Abalamuzi basatu abatuuka ku kooti eno basazizaamu ennamula ya kooti enkulu etuula mu district ye Mbale eyali yasazaamu obuwanguzi bwa Opendi ku bigambibwa nti waliwo ebingi ebirumira ebyetobeka mu kulonda.
Bano nga abakulembeddwamu amyuka ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, eyali ssabalamuzi Steven Kavuma ne Richard Buteera tebakanyizza nomulamuzi Oguli Oumo owe Mbale.
Ye omukyala Ayo Jacinta eyawaaba omusango alagiddwa okusasula ensimbi zonna ezisasanyiziddwa mu musango guno mu kooti zombie.