Bya Abubker Kirunda
Abatuuze abakaawu okukira ennumba, wali ku kualo Busige bakidde emmotoka 2 nebazitekera omuliro, era nezisanawo oluvanyuma lwokutomera omuntu.
Kuno kubaddeko mmotoka kika kya Wish namba UBD 391/A Loole namba UPD 667.
Ayogerera poliisi mu kitundu Dianah Nandaula agambye nti, ekijje abatuuze mu mbeera, omu kuba dereva be mmotoka, zino abadde nobutakaanya nomugenzi, okusinziira ku batuuze.