Skip to content Skip to footer

Moyo- okubala kuyimiriziddwa, abantu beekalakaasizza

deployment

Nga okubala abantu kukomekerezebwa olunaku olw’enkya, kkwo e Moyo kuyimiriziddwa okutuusa olunaku olw’enkya.

Kino kiddiridde ekibinja ky’abasudan okukwata SSentebe wa distulikiti eno nebamusaza ensalo okutuuka mu south Sudan gyakyakwatiddwa n’okutuusa essaaa eno .

Kati omubaka wa pulezidenti e Moyo John Abingwa agamba baasindise dda ekibinja ky’abakungu okuva wano mu ggwanga okwongera okuteeseganya ne poliisi ya South Sudan okulaba nga ssentebe ateebwa.

Bbo nno abantu bakedde kwekalakaasa nga bawakanya okukwatibwa kwa ssente kyokka nga poliisi ebakkakkanyizza mangu

Kati RDC Abingwa  asabye  bannayuganda okusigala nga bakakamu yadde nga waliwo obunkenke wakati w’abasudani nabo nga gavumenti bwekola ekisoboka okutereeza embeera.

Leave a comment

0.0/5