Bya Shamim Nateebwa.
Agavve e Mulago n’amalwaliro ga gavumenti amalala simalungi, anti abasawo tebakedde kukola era nga kaakano abalwadde bakedde kukonkomala.
E Kiruddu abalwadde baakedde kutuuka wabula nga mpaawo abafaako, songa yo e Mulago abalwadde abali obubi enyo bebokka abakolebwako.
Kinajukirwa nti abasawo bano eggulo baatudde nebasalawo okugaana okukola nga bagamba nti gavumenti erina kusooka kukola ku nsonga zaabwe.
Bano okusinga baagala enyongeza ku musaala, okuteeke bikozesebwa mu malwaliro, okubawa obusiimo bwabwe kko n’ebirara.


