Kooti mu ggwanga lya Misiri esindise eyali omukulembeze w’eggwanga lino Hosni Mubaraka mu kkomera yebakeyo emyaka 3.
Kiddiridde ono okusingisibwa emisango gy’okubulankanya ensimbi y’omuwi w’omusolo.
Bbo batabani be ababiri okuli , Alaa ne Gamal, bbo basibiddwa emyaka 4.
Oludda oluwaabi lugamba bano bemolera obukadde bwa doola obusoba mu 17 nga bagamba baagala kulongoosa mbiri z’obukulembeze bw’eggwanga.