Bya Kato Joseph.
Abadde adumira police ye Buyende Muhammad Kirumira nate agiddwa wano mu kampala wabadde aggaliddwa naatwalibwa e Nalufenya ewakuumirwa abazzi b’emisango egy’amaanyi.
Ayogerera police ye gwanga Emilian Kayima ayogedeko ne munamawulire wa daily monitor n’amugamba nti kitufu Kirumira atwaliddwa e Nakufenya, wabula obudde bw’amutwalidemu, n’ekimutwazizaayo mpaawo akitegedde.
Mukyala wa Kirumira nga ono ye Mariam Kirumira atubuulide nti amakya ga leero akedde wano ku Railway police station okumanya ebikwata kubbaawe, kyoka abaserikale bamutegeezeza nti kumakya abasajja abatabadde mungoye za police bazze nebamutwala e Nalufenya nga mpaawo nsonga gyebamuwadde.
Kinajukirwa nti akawungezi akayise waabadewo katemba nga wali mumaka ga Kirumira e Gogonya, Bulenga anti police yasanze obuzibu okumukwata bweyasazeewo okweggalira munyumba okutuusa bwebamenye okuggi.