Bya Ruth Anderah
Omukyala ow’emyaka 26 agambibwa okwenyigira mu bunyazi akwatiddwa navunanwa mu mbuga z’amateeka.
Basemera Shadia yaavunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi w’edaala erisooka Patrick Talisuna wabula neyegaana emisango ebbiri ogw’obubbi , n’okumenya edduuka ly’omuntu.
Kigambibwa nti Basemera n’abalala abatanakwatibwa nga December 23rd 2017 ku luguudo Mukalazi e Bukoto wano mu Kampala bamenya edduuka lya Asiimwe Anna nebabbamu paasi z’amasanyalaze 3, TV, lap top ne ssente enkalu ezisoba mu obukadde 15.
Ono mulamuzi amusindise e Luzira okutuusa February 5th lwanadizibwa asabe okweyimirirwa.
