Bya Damali Mukhaye.
Akakiiko akalera edembe ly’obuntu mu uganda aka Uganda human rights commission, kakangukidde police olw’okukozesa amaanyi agayitiridde mukukwata musajja waayo Mohammed Kirumira olunaku olw’eggulo.
Kinajukirwa nti olunaku olw’egulo police yakozesezza ebyuma ebisala enzigi okuwangulamu oluggi lwa Kirumira, okukakana nga bamuwaludde okumutwaka ku police
Twogedeko ne ssentebe w’akakiiko kano Meddie Kagwa naagamba nti okukozesa obukambwe, ko n’okukuuba amasasi mu banga kyabadde tekyetagisa.
On agamba nti bbo nga akakiiko baludde nga bavumirira ebikolwa bya police nga bino, kyoka ekisinga okuluma nti kuluno baabikoze ku muntu wabwe yenyini.
