Skip to content Skip to footer

Muka Mbabazi talina musango

Mbabazi and wife

Poliiisi kyaddaaki evuddemu omwaasi ku bibadde biyitingana nti erina enteekateeka z’okukwata mukyala Jackline Mbabazi

Wabaddewo ebitandise okuyitingana nga mukyala wa ssabaminista Amama Mbabazi bw’agenda okukwatibwa anyonyole ku bigambo by’azze eyogera nti gen Kale Kaihura akozesebwa okuggula ebisangosango ku bavuganya gavumenti

Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga agamba nti luno lugambo bugambo era nga bigendereddwa kusaaba poliisi ttosi

Ono anyonyodde nti poliisi terina w’esinziira kukwata Mbabazi kubanga tennaba na kukola failo ku misango egyogerwaako

Leave a comment

0.0/5