Ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura asabye bannayuganda bonna okukwatiza awamu ne poliisi okusobola okukuuma omwana omuwala.
Okusaba kuno kuzze wakayita olunaku lumu lwokka poliisi kyeggye efulumye alipoota nga emisango gy’okukabasanya abaana abawala bwegizze gikendeera.
Okusinziira ku Kayihura, emisango gy’okukwata abakazi, okusobya ku bawala ssaako n’abenganda zaabwe okubazaalamu gyo bwegikyali waggulu yadde nga poliisi ekola ekisoboka okubirwanyisa.
Agamba bekikwatako bonna basaanye okukwatagana ne poliisi okumalawo bino byonna okuviira ddala mu maka gaabwe.