Bya Shamim Nateebwa
Kabitte weyaliko omuduumizi wa police ye Buyende ASP Muhammad Kirumira olwaleero azadde omwana mulenzi wali ku dwaliro e Rubaga.
Ono asumulukuse ku ssaawa 9, omutabani n’atuumibwa erinya lya kaweesi nga kitaawe bweyalagira.
Tukitegeddeko nti Kirumira yategeeza kitaawe nti mukyala we Mariam Kirumira bw’azaalanga omwana nga tannava Nalufeenya oba mulenzi oba muwala omwana bamuwanga erinnya lya Kaweesi.
Kitaawe wa Kirumira Baker Kawoya kyakoze omwana oluzaliddwa n’amutumirawo erinnya lya Kaweesi.