Skip to content Skip to footer

Mulonde NRM- Museveni

Museveni in luweero campaigns

Pulezidenti Museveni Yoweri olwaleero asiibye Luweero ng’ayiggira munna NRM Rebecca Nalwanga akalulu

Olukungaana lw’ayogereddeko lubadde wobulenzi ng’eno gy’asabidde abatuuze obutesembereza bakulembeze babalimba banywereere ku NRM

Agambye nti basaanye okulonda abakulembeze abanawagira enteekateeka za gavumenti okwewala okuva ku lusaniya

Pulezidenti agenda kubeera Bombo olunaku lw’enkya ate yye munna DP Brenda Nabukenya wakubeera wobulenzi

Olunaku lw’enkya kampeyini lwezifundikirwa ate ku Lw’okuna bannaluweero balonde.

Abeesimbyeewo bali bana.

Leave a comment

0.0/5