Abantu munaana beebattiddwa abakwata mundu bwebalumbye ekifo ky’obulambuzi mu kibuga kya Tunisia ekikulu Tunis
Mu bafudde, musanvu balambuzi ate omu munnansi wa Tunisia
Bino bibadde ku kifo ky’obulambuzi ekimanyiddwa nga Bardo ekiriraanye ekizimbe kya palamenti
Mu kaseera obulumbaganyi buno webubeereddewo, ng’ababaka mu palamenti bagenda mu maaso n’okuteesa ku mateeka agavumirira obutujju