Bya Ivan Ssenabulya
Police mu Kampala etandise okunonyereza ku nfa ya munais wa Burundi, asangiddwa nga muffu ku Nabugabo.
Manario Juvenile ngabadde akuuma mmotoka zebyamaguzi wano mu Kampala ebigenda e Burundi, asangiddwa nga yafiridde mu FUSO namba UAS 938/Q.
Bwabadde ayogerako naffe, omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire agambye nti batebereza nti omugenzi yafudde kirwadde kya asima, kubanga okumpi basanzeewo inhaler gyabaddenga akozesa.
Omulambo gutwaliddwa mu gwanika e Mulago okwongera okwekebejjebwa, wabula poliisi egamba nti okunonyereza kwakugenda amu maaso okuzuula ekyamusse.
