
Akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu asazizzaamu okukuba enkungaana ze eziwenja akalulu okutuuka nga Dr Kiiza Besigye ayimbuddwa era nebakakasa nti taddemu kukwatibwa
Besigye akwatiddwa enkya ya leero okuva mu maka ge e Kasangati nga yetegekera okugenda okutongoza kampeyini ze ku kisaawe kye Kasangati.
Muntu abadde alina okubeera e Kabale ku lw’omukaaga luno agamba nti asazeewo okugira ng’ayimiriza kampeyini ze kubanga tasobola kuvuganya musibe
Agambye nti okukwatibwa kwa Besigye ne Muntu kubadde tekwetaagisa
Yye akulira ekibiina kya Uganda Federal Alliance Betty Kamya gaamba nti ebikolwa bya poliisi bikaabya
Kamya nno agusalidde bantu ba bulijjo abasirise ng’eggwanga ligootana