Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ayagala eggwanga lya Rwanda liyirire bannayuganda bonna abafiirwa ebyaabwe mu lutalo olwaleeta gavumenti y’eggwanga lino mu buyinza wakati wa 1990-1994.
Bweyabadde aggulawo ekkolero ly’enanansi wali mu gombolola ye Maziba mu disitulikiti ye Kabale , pulezidenti Museveni yategezezza nga Rwanda ensonga eno bw’ebadde egitunulira ekyamuli sso nga kyetaagisa.
Museveni yasuubizza okujjukiza omukulembeze w’eggwanga lya Rwanda Paul Kagame ku nsonga eno era singa gavumenti ya Rwanda tekituukiriza, wakukyekolera ye kenyini aliyirire abafiirwa ebyaabwe.
Enkumi n’enkumi z’abannayuganda mu magombolola okuli Maziba, Buhara, Kamwezi, Kamuganguzi, Rubaya ne Butanda nga bano bali kumpi n’eggwanga lya Rwanda bafiirwa obulamu bwabwe wamu n’ebyabwe mu kitta bantu kino.