Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde minisitule y’ebyobulamu okuddamu okufuuyira eddagala erirwanyisa omusujja gw’ensiri mu muyumba g’abantu , ogwongedde okutirimbula abantu mu mambuka g’eggwanga.
Kino kijjidde mu kiseera nga minisitule yakategeeza nti omusujja gw’ensiri gweyongedde okusaasana era nga gwakatta abantu 10 mu disitulikiti omuli Lamwo, Gulu, Kitgum, Oyam, n’endala.
Bw’abadde awumbawumba okulambula kwabaddeko mu bitundu bya- West Nile n’obukiikakkono, pulezidenti agambye nti webituuse , kyeetaga minisitule esitukiremu okutaasa bannayuganda.