Skip to content Skip to footer

1500 baggyeeyo foomu

Bannakibiina kya NRM abasoba mu 1500 beebakajjayo empapula z’okwewandiisa okuvuganya ku bifo ebyenjawulo mu kamyufu k’ekibiina.

Ku bano kuliko abagaala okufuuka ababaka ba palamenti abasoba mu 950, abagaala okufuuka ba ssentebe ba disitulikiti 635 n’abalala.

Akulira akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya NRM Dr Tanga Odoi agambye nti okuvuganya okw’amaanyi kusinze mu bugwanjuba bw’eggwanga, obuvanjuba wamu n’amasekkati g’eggwanga.

Wabula Odoi alabudde bannakibiina okwewala amawulire gonna agakwata ku kulonda kw’ekibiina nga tegavudde mu kakiiko k’ebyokulonda oba Ssabawandiisi w’ekibiina Justine Kasule Lulumba.

Ku kitebe ky’ekibiina abantu abenjawulo bakyajjayo empapula.

Mubajjeeyo empappula olwaleero kwekuli munnamawulire Kalooli Sserugga Matovu ayagala obubaka bwa Mityana South.

Leave a comment

0.0/5