Ab’ekibiina kya FDC bakolokose pulezidenti Museveni olwokumala gagabanga ssente eri ebibiina by’obwegassi mu butale.
Kino kiddiridde ebyafulumye nti pulezidenti aliko ekibiina ekitaliiyo kyeyawa obukadde 100 wali e Mulago kubbiri sso nga ssinakiwandiise.
Kati omwogezi w’ekibiina kya FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agamba pulezidenti alina kulungamya nkola yamirimu ya bibiina bino bonna bafune ensimbi ezokwekulakulanya.