Poliisi ye Jinja eriko paasita gw’ekutte lwakusangibwa n’abawala b’abadde akuumira mu kanisa gyeyakola mu makage.
Paasita Osubati Obako okuva e Kabaale y’akwatiddwa ku kyalo Naigobya .
Poliisi egamba abamu ku batuuze bafunye okweralikirira nti yandiba nga asobya ku bamu ku bawala bano nga era atwala poliisi ye busedde Kenneth Okwi agamba bwebayazizza enyumba eno kati ekola nga akanisa baasanzemu obupaketi bw’obupiira bu galimpitawa.
Okwio agamba paasita ono era talina viwandiiko bimukkiriza kukolera mu kitundu kino nga kati poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza.