
Nakawere atanaweza mwezi awonedde watono okuttibwa bwasangiddwa lubona ngabba ewa Landlord we.
Nambuya Sylvia omutuuze ku kyalo Katuba mu gombolola ye Nakisunga, abadde yakazaala asangiddwa ngabuuse akasolya ke nnyumba ya Landlord we Kisolo John ppaka mu dduuka lye ngabba ssente.
Bano babadde bagenze mu nnimiro wabula omukazi nakomawo okukima eddagala lyokufuyira namusanga munda mu dduuka nga yemakula,alayizza enduulu esombodde abatuuze nebamukuba emiggo mizibu.
Landlord Kisolo nga ye mumyuka wa ssentebbe we kyalo azze yatasizza Nakawere Nambuya obutatibwanaye nga kati ali mu mbeera mbi.