
Kkooti enkulu eragidde kampuni enkozi ya Butto eya BIDCO obutaddamu kulima binazi mu disitulikiti ye Kalangala okutuusa nga emaze okuwulira omusango ogwawaabwa abatuuze nga bemulugunya okubagobaganya ku ttaka lyabwe nga tebasasuddwa.
Amaka agasoba mu 100 gakuba kampuni eno mu kkooti nga bagilumiriza okubasindikiriza ku ttaka lyabwe.
Omulamuzi John Keitirima awadde ekiragiro kino oluvanyuma lw’enjuyi zombi okulemererwa okukkanya wabweru wa kkooti.
Abatuuze nga bakulembeddwamu John Muyiisa bategezezza nga abaana baabwe bwebatakyagenda ku masomero kubanga ebirime byabwe byabwe ebyavangamu ensimbi z’okubawerera byasayibwa aba Bidco.
Bano kati baagala kampuni eno ebaliyirire ebaddize n’ettaka lyabwe.