
Omubaka wa Kyaddondo East Ibrahim Semuju Nganda akwatiddwa.
Nganda akwatiddwa nga ava mu makage e Kirinya Bukasa okugenda okuggulawo ofiisi z’ekibiina kya FDC e Kireka.
Ssentebe w’ekibiina kya FDC mu gombolola ye Kiira Hussein Lubega ategezezza nga Nganda bw’akwatiddwa ne munnamawulire abadde akwata ekigenda mu maaso ku kamera.
Tukitegeddeko nti Nganda atwaliddwa ku poliisi ye Naggalama
Mungeri yeemu aduumira poliisi ye Kiira JB Serunjogi ategezezza nga embeera kati bw’ezze mu nteko.