Skip to content Skip to footer

Nambooze akunze abe Mukono okulonda

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze akunze abantu be Mukono, okwetaba mu kulonda okubindabuinda, mu bungi okusobola okuletawo enkyukayuka mu gwanga.

Nambooze ayogedde kungeri abantu gyebanayigirizibwamu, ngembeera eyongera kwononek buli lunnaku.

Ayogedde ku kiwamba nekitta bantu, naddala absubuzi nebikolwa ebirala.

Bino abyogeredde ku Duwa yomugenzi Ssalongo Ibrah Kirevu, abadde amanyiddwa nga Bajaj, nga yali musubuzi wa pikipiki, omutuuze ku kyalo Lower Nabuti e Mukono.

Ono yakubwa amasasi mu kwekalakaasa okwali kuwakanya okukwatibwa kwa Bobi Wine, mu Novemba womwaka oguwedde 2020.

Leave a comment

0.0/5