Bya Malik Fahad.
Police wano e Katwe mu Sembabule etandise okunonyereza engeri omusajja ow’emyaka 66 gyafiiridde mu muliro mukiro ekikeesezza olwaleero
Eno entiisa ebadde ku kyalo Binikiro mu gombolola ye Katwe , omuntu atanategerekeka bwateekedde enju ya Peter Kakooza owemyaka 66, namala namuggalira munda.
Ssentebe w’ekyalo kino John Bukenya, agambye nti abaakoze kino bakozesezza mafuta aga Petrol nebamala nebadukira ku bodaboda.
Ono abadde abeera ne muwalawe , kyoka ono abatemu bano baasoose nebamulagira okufuluma, nebamala nebateekera enyumba eno omuliro