Skip to content Skip to footer

Nyakaana awangudde Singh

Godfrey Nyakana Amooti ye mumyuka wa ssentebe w’ekibiina kya NRM wano mu Kampala sso nga ye  Sam Engola alidde obwa ssentebe mu bukiika kkono bw’eggwanga.

 

Mu bitundu ebirala abamu baalekedde banaabwe okuyitamu nga tebavuganyiziddwa, ku bifo bino bonna balemeddeko nebavuganya.

 

Nyakaana  y’amezze  Katongole Singh Malwah n’obululu 3389 sso nga ye Katongole y’afunye  1544 mu kulonda okwabaddewo akawungeezi akayise.

 

Ye Sam Engola y’amezze minisita w’ebigwa tebiraze Eng Hilary Oneck n’obululu 3338 ku 1534.

Leave a comment

0.0/5