Skip to content Skip to footer

Pulezidenti Museveni anaayogerako eri bamemba mu ttabamiruka

File Photo: Abawagizi ba NRM
File Photo: Abawagizi ba NRM

Ttabamiruka ‘ekibiina kya NRM akomekerezebwa olunaku olwaleero.

Olukungaana luno olw’ennaku 2 mubaddemu okukakasa pulezidenti Museveni nga agenda okukwatira ekibiina kino bendera ku bwa pulezidenti nga tavuganyiziddwa wamu n’abakulembeze b’ekibiina abalala abaakakasiddwa.

Ssentebe w’ekibiina kino era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asuubirwa okwogerako eri ebakungu b’ekibiina kino oluvanyuma lw’okuddamu okuweebwa bendera .

Amyuka ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM  Richard Todwong ategezezza nga olwaleero obukiiko bwokuntikko bwebugenda okusooka okusisisnkana olwo balabe ebiddako.

Mu ngeri yeemu Omukulembeze w’eggwanga  Yoweri Museveni  asabye abakulembeze mu kibiina kye okukolagana obulungi n’abakulembeze abaalondeddwa mu kamyufu ku lw’obulungi bw’ekibiina.

Nga ayogerako eri abakungu b’ekibiina olunaku lw’eggulo nga amaze okulangirirwa mu butongole okukwatira ekibiina bendera ku bwapulezidenti, pulezidenti Museveni y’anenyezza abakulu mu kibiina abekubira oludda nebaleeta akavuyo mu kibiina.

Ono asabye ba memba bonna okutunuulira ebisera eby’omumaaso n’ategeeza nga bingi ebyetagisa okukolebwa.

Mungeri yeemu Pulezidenti Museveni avumiridde ba memba abalumiriza banaabwe nti baabaguze nebava mu lwokaano lw’okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo nga bagaliza banaabwe abalala.

Ono awadde eky’okulabirako mu buvanjuba bwa Uganda nga eno abantu 4 basazewo okulekera Captain Mike Mukula ku bwa ssentebe bw’ekibiina mu kitundu kino.

Ye Mukula yeganye ebyogerwa nti yasoose kutiisatiisa abaabadde bamwesimbyeko okusobola okumulekera.

Mukula agamba abaamulekedde bakikoze lwabulungi bwa kibiina era n’aaba abakulembeze okukolera ekibiina kyabwe okusobola okukulakulana.

Leave a comment

0.0/5