
Ate nga ebula olunaku lumu lwokka okutuuka ku lunaku lw’okusunsula abesimbyewo ku bwapulezidenti, akakiiko k’ebyokulonda kalabudde abesimbyewo bonna obutasukka lunaku lwaleero nga bamaze okuwerezayo amanya g’abo abagenda okubawerekera nga bagenda okusunsulibwa ku kisaawe e Namboole.
Okusunsula kwakukwatibwa olunaku olw’enkya nga era buli yesimbyewo alina okugenda n’emmotoka 2 wamu n’abantu 20.
Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Taremwa ategezeza nga buli mmotoka bwerina okubeera n’akapande ka poliisi nga kale balina okugoberera amateeka ga poliisi agokunguudo.
Mungeri yeemu aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano Abbas Byakagaba alabudde bobba okugondera ensengeka y’entambula .