
Waliwo obunyonyi bwa NRM obuvudde eri nebugwa mu kisaawe Amama Mbabazi w’alina okukuba olukungaana e Kabarole
Obunyonyi buno obubiri bulese abawagizi ba Mbabazi ababadde bategekera omuntu waabwe nga bawunikiridde
Bangi bagamba nti kuno kutiisatiisa bantu okubalemesa okugenda ku lukungaana lwe
Bino bizze nga bitundu ebisinga, ebipande bya Mbabazi ebyatimbidde byonna bitimbuluddwaayo newaddawo ebya pulezidenti Museveni
Wabula amyuka RDC we Kabarole Rosemary Byabasaija ayanguye okuwakanya ebyogerwa nti ebipande bya Mbabazi bitimbuluddwa ba NRM.
