Eyali maneja wa SC Villa Chris Mubiru atuuse ku kkooti enkulu okujulira ku kibonerezo ky’okusibwa emyaka 10 lwamusango gwakusiyaga mwana atanetuuka.
Mubiru asuubirwa ali mu maaso g’omulamuzi Albert Rugadya Atwoki.
Mubiru y’asibwa emyaka 10 mu September w’omwaka gino oluvnyuma lw’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Flavia Nabakooza okutegeza nti obujulizi ddala bulumiza Mubiru ku by’okuggula buutu y’omulenzi nga alina n’okumuliyirira obukadde 50.
Omulamuzi y’ategeeza nga bwebafuna obujulizi bwebikozesebwa mu kusiyaga ebyajibwa mu nyumba ya Mubiru kale nga ono ogw’ebikolwa bya sodome ne gomola yali taguwona.