Okukebera emkalala z’okulonda kwongezeddwaayo okutuuka nga 11 omwezi ogujja
Kino kiddiridde abantu okwemulugunya ku budde obubadde obutono era mu bitundu ebiwera abantu basigadde ku nkalala
Amyuka omwogezi w’akakiiko akalondesa, Paul Bukenya agamba nti kino bakikoze kubanga nabo basiibye mu bifo ebyanjawulo ng’abantu bayitirivu
Okukebera amannya ku nkalala z’abalonzi okubadde kugenda mu maaso kufundikiddwa
Kino kibaddewo wakati mu kwemulugunya okuva eria bantu nti obudde obuwereddwa kino bubadde butono yadde akakiiko kayongezaamu ennaku nnya
Twogeddeko n’abantu abatali bamu abasabye nti wabeewo okwongera ku budde
Bbo bannakyeewa aba The Citizens’ Coalition for Electoral Democracy in Uganda baaniirizza okwongezaayo kuno nga bagamba nti kujja kuyamba abantu abalala okwekebera
Kyokka akulira CCEDU Crispy Kaheru agamba nti nga bino bigenda mu maaso, akakiiko keekadde kabawe enteekateeka ennungamu ku by’okulonda okutwaliza awamu