Endoolito mu kibiina kya DP ssizakugwa kati.
Ssentebe w’ekibiina kino e Masaka Fred Mukasa Mbidde kati alagidde ofiisi z’ekibiina ziggalwe lwankaayana munda mu kibiina kino.
Kino kiddiridde akavuyo akaabadde ku ofiisi eno oluvanyuma lw’okusazibwamu kw’okulonda kw’obukiiko bw’ekibiina ku byalo mu gombolola ze Kimaanya ne Kyabakuza ku bigambibwa nti kwabaddemu okubbira.
Abamu ku bannakibiina nga bakulembeddwamu Brenda Nambirige, Nalubyayi Zahara ne Sarah Namyalo n’abalala baawaddeyo okwemulugunya kwabwe ku byavudde mu kulonda mu gombolola zino.
Wabula oluvanyuma omu ku baabadde bemulugunya Nalubyayi oluvanyuma lw’okukitegeerako nti kyandiviirako okusazaamu ebyavudde mu kulonda y’asazeewo abiveemu ekyayongedde okutabula ababadde bamuwagira n’abamuwakanya.
Mbidde asabye poliisi okuggalawo ofiisi zino okutuusa nga abiwayi byombi bikkakanye nga era zaakugulwa wansi w’amateeka amapya.
