Akulira ekitongole ky’ebyenguudo mu ggwanga omujja Allen Kagina aweze okufaafagana n’abali b’enguzi mu kitongole kino .
Agamba wakwekenenya obulyake obwabuli kika mu kitongole kino n’okusingira ddala mu kugula n’okutunda ebintu mu kitongole kino.
Kagina era wakutunula mu bitabo ebyabalibwa okulaba abo boona abazze bemoolera ku nsimbi ezitali zaabwe era n’alabula n’abo bonna abali ku muinzaani ez’enjawulo okufuba okulaba nti bewalira ddala okulya ekyoja mumiro.
Kagina takomyeko okwo wabula n’awera nga bw’agenda okulondoola enguudo zonna ezizimbibwa okulaba nti gavumenti zeesasulira ddala zeezo ezizimbibwa.
Wabula asabye minisitule minisitule y’ebyensimbi okufuba okulaba nga ensimbi ezeetagisa zisindikibwa mu budde bakole bulungi emirimu gyabwe.
Kagina wakuddamu okwetegereza abakozi bonna mu ofiisi ye okulaba wa ewetaaga okwongera amaanyi.
