Poliisi ye kiboga eri mu kunonyereza ku kyaviiriddeko omuliro okukwata enkambi yaayo ebintu byabukadde nebisaanawo.
Omuliro guno kigambibwa nti gwatandise ekiro ekikeesezza negusaasana negukwata enyumba ssatu buli kyabaddemu nekifuuka vvu.
Ab’erabiddeko bagamba omuliro guno tegwandisaasanyenyo wabula poliisi ezikiriza omuliro y’atuuse kikeerezi nga paawo kyebaatasizza.
Abamu ku baserikale ba poliisi abafiiriddwa ebyabwe kuliko Daniel Rukenge, Dominic Ssuna ne Issac Bugembe.
Kawefube w’okwogerako n’atwala poliisi ye Kiboga agudde butaka olw’agikulira Conura Natukunda okugaana okubaako nekyayogera.