Skip to content Skip to footer

Okukyala kwa Paapa- abasumba basonze awali ebizibu

File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono
File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono

Ng’eggwanga lyesunga okukyaaza papa, ba ssabasumba b’abakatolika bafulumizza olukalala okuli ebyetaaga okussaako essira mu kaseera kano

Ekiwandiiko ekivudde mu Lukiiko lw’abesikoopi olukulembewa ssabasumba John Baptist Odama kiraze nti ebizibu ebisaanye okussibwaako essira kuliko abantu abali mu bufumbo bwa kawundo kakubye eddirisa, obufumbo obujjudde entalo, obulogo, okusaddaaka abantu n’ebirala.

Odama agambye nti mu ngeri yeemu amakaga gajjudde obwenzi, tegaliimu mukwano, obukubagano, okufumbiza abaana abatannaba kwetuuka, siriimu , okutulugunya abaana, obwavu kko n’ebiralala bingi ebyetaaga okukolako.

Ssabasumba Odama asabye bannayuganda okudda ku bisomesebwa bannaddini n’okusaba.

Odama ategeezezza nga bwebalonze essaala ssatu okuli eya Kitaffe ali mu ggulu, Maria omutuukirivu ne Ekitiibwa nga zino zirina okusomwa oluvanyuma lwa buli missa, mu bulamu bwa kko b’okusaba kwa wamu.

Paapa atuuka mu Uganda nga 27 November wakumala kuno ennaku ssatu era ng’ono ye papa ow’okusatu eyakakyala wano ng’eyasemba yali paapa John Paul the second.

Leave a comment

0.0/5