
Eggwanga lya Turkey lirabudde nti omuwendo gw’ababundabunda okuva mu ggwanga lya Syria gwandyeyongera okulinnya olw’olutalo okweyongera mu ggwanga luno
Bino byogeddwa ab’omukago gwa bulaaya abagamba nti okuva Russia ne Iran lwebayingira mu nsonag z’eno, omukulembeze ali mu ntebe Bashar al-Assad yeeyongedde amaanyi era n’okusindikiriza abantu bwekityo.
Abantu abali mu bukadde 13 beebasuubira okudduka mu kitundu kye Aleppo kyokka yadde ng’abakola ku babundabunda bagamba nti tebannaba kufunayo balala badduka.