
Akakiiko akalondesa kayisizzaamu emikono egyatwalibwa abantu bana okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga
Mu bayise ku mutendera guno kuliko pulezidenti Yoweri Museveni, Dr. Kiiza Besigye, Amama Mbabzi ne Dr. Abed Bwanika .
Omwogezi w’akakiiko akalondesa Jotham Taremwa agambye nti bamaze owkekebejja emikono gya bano nga tegiriimu birumira.
Taremwa agambye nti bakyekebejja emikono emirala okulaba oba temuli bizibu
Abalala abawaayo emikono kuliko Prof.Venacius Baryamureeba ne Joseph Mabirizi abesimbyeewo ku lwaabwe.