Minisitule ekola ku by’enguudo ekwataganye ne kkampuni ya face technologies okutandika okugaba pamiti eri abazeetaga mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.
Enkola eno yakusobozesa abagaba pamit okutambula ebitundu ebitali bimu okuyambako abo ababeera ewala.
Ng’atongoza enkola eno, minisita w’ebyenguudo John Byabagambi agambye nti kino kijja kukendeeza n’okulwiisa abantu nga mu kadde kano balina ebifo musanvu byokka ebigaba pamiti kale nga tebimatiza bazeetaga
Byabagambi agambye nti bakutandikira mu bifo bye wala kubanga bano beebasinga okubonaboona okujja mu kampala okugoba pamiti zino.
Mu ngeri yeemu poliisi efunye obuuma 55 obugenda okuyamba okulaba pamiti z’ebicupuli.
