Sipiika wa palamenti ategezezza nga bannayuganda bwebasaana okusooka okwebuzibwako nga ebbago ly’etteeka ku by’okuwera akalabba terinayisibwa kufuuka tteeka.
Nga agulawo enteeseganya za palamenti ku ky’okugyawo akalabba,sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga ategezezza nga ensinga eno bweli eyamakulu enyo kale nga ne bannayuganda balina okuweeba omukisa okutekako ettaffaali mu nteseganya zino.
Kadaga agamba palamenti erina okufuba okulaba nga amateeka agayisibwa gatumbula enkola ya demokulasiya nga era galimu ebiriwoozo by’abannayuganda.
Ababaka ba palamenti batandise okuteesa ku tteeka lino nga ssinga liyisibwa, akalabba kakufuuka lufumo wano mu ggwanga.
Ebbago ly’etteeka ku kalabba kano lyayanjibwa ababaka okuli Alice Alaso ne Fox Odoi abategeeza nga akalabba bwekitali kibonerezo.
Omwaka guno kkooti yokuntikko y’agoba okusaba kw’ebibiina byobwanakyewa abaali baagala akalabba kawerebwe mbagirawo nga ekimu ku kibonerezo eri abazza emisango eminene.