
Ababaka ba palamenti ab’enjawulo n’abantu abalala bakyeyiwa ku palamenti okukuba eriiso evvanyuma ku mugenzi Dr James Mutende nga ono ye minisita omubeezi ow’amakolero.
Mutende y’afa ku lunaku olwomukaaga mu maka ge e Makindye.
Nga ayogerako nebannamawulire, omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Sekandi ategezezza nga okufa kwa Mutende bwerili ekkonde eddene eri ekibiina .
Ono akubirizza abantu okwetegekera okufa.
Bbo ababaka okuli Daudi Migereko , Alice Alaso ne Semujju Nganda batenderezza nyo emirimu gy’omugenzi.
Omugenzi Mutende wakuzikibwa ku bijja byabajajjabe mu disitulikiti ye Sironko nga era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni naye wakwetaba mu kuziika.