
Poliisi ekyali mu gyangu onkwekule n’abayizi ku ttendekero ekkulu e Makerere abakyekalakaasa nga bawakanya okusasula fiizi zonna mu ssabbiiti 6 ezisooka mu lusoma.
Poliisi kati eva kizimbe ku kizimba okukwata abo abakola effujjo.
Akulira ebyokwerinda ku ttendekero lino Jackson Mucunguzi agamba abayaaye nabo bagasse mu bayizi abekelakaasa nebongera okutabangula embeera.
Okusooka poliisi y’akubye omukka ogubalagala mu bayizi bano ababadde batabuse nga era abawerako bakwatiddwa.