Skip to content Skip to footer

Okulwanyisa abébijjambiya e Masaka: Abatuuze baakuwandisibwa

Bya Malik Fahad,

Abatwala ebyókwerinda e Masaka balagidde ba Ssentebe bébyalo okutandika okuwandiisa abatuuze bonna mu kawefube owókunyweza ebyókwerinda oluvanyuma lwa batemu bebijjambiya okuzingako ekitundu.

Mu kwogerako ne bannamawulire abatwala ebyokwerinda nga bakulembedwamu RDC wekitundu Fred Bamwine, bategezeza nga bassentebe bwerina okuwandiisa abatuuze bonna.

Bamwine era akubiriza abakulembeze be bitundu okutuuza enkiiko ezokusala amagezi ku byokwerinda ebidobonkanye

Ye addumira poliisi e Masaka, Paul Nkole, alabudde abatuuze obutagenzako kulinyirira awagudde akatyabaga kuba kitataganya okufuna obujjulizi

Ono agambye nti bakakwata abantu 38 abagambibwa okubako kyebamanyi ku buttemu obugenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5