Skip to content Skip to footer

Okusonda ssente za masiro, katikkiro atalaaze ebitundu

katikkiro in Undraiisng drive

Abaganda okuva mu bitundu bya Kampala ebitali bimu omuli ab’essaza lye Kyaddondo ne Busiro basonze obukadde 13, nga basinziira mu lusiisira katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga lw’akubye mu Masiro ge Kasubi.

Olusisiira luno lwakugenda mu maaso okutuusa ku lunaku lw’okutaano olwa ssabiiti eno.

Bw’abadde ayogerako eri abantu abakunganye ,Katikiro agambye nti buli muganda alina okwenyigira mu mulimo guno,kubanga gwa byafaayo ,era nga buli muntu yandisaanye n’ateekako etofaali lye.

Obukade obusoba 400 bwebwakasondebwa mu masaza ag’enjawulo mu banga lya mwezi gumu gwokka kawefube ono gw’amaze .

Leave a comment

0.0/5