Skip to content Skip to footer

Okwekalakaasa e Kigezi- abayizi bazze ewaka

Kigezi high sch

Poliisi ekyayiiriddwa okwetolola essomero lya  kigezi high oluvanyuma lw’olutalo wakati w’abayizi aba O ne A level.

Olunaku olw’eggulo abayizi b’ebibiina ebyawansi baatabuse oluvanyuma lw’abanaabwe okubayeeya okwambala empale enyimpi ekyaviiriddeko olutalo.

Bano nabo baasazeewo okwambala empanvu okwenkanakana n’aba A-level abakulu kyebattakirizza olwo embooko n’evuga n’ejinja neritandika okwesooza mu bbanga.

Aduumira poliisi ye Kabaale  Arop Bosco agamba  basazeewo abakulira essomero bazze ewaka abayizi ba siniya ey’okusatu ey’okuna n’aba A level bonna nga ensonmga eno bwegonjoolwa.

 Agamba balina okutya nti abayizi bano bandiddamu okulwanagana kubanga abasinga babeera kumpi n’essomero lino.

Leave a comment

0.0/5