Bya Samuel Ssebuliba.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni atongozezza olutindo olusala omugga Nile olupya , nga luno lwelugenda okusikira olwa Nalubale okukadde.
President mukwogera agambye nti government egwana okutandika okusasula abakugu omusaala ogumala baleme okuduka mu gwanga okugenda okunoonya akasimbi akasingako.
Ono agambye nti singa Uganda ebadde esobola okwesigaliza banasayansi baayo , yandibadde tedukira Japan okukima abaayo okujja okuyamba Uganda.
Mukusooka minister akola ku by’enguudo Eng Ntege Azuba yagambye nti luno olutindo lunene ekimala okusinga kulukadde olwa Nalubale olwazimbibwa mu 1950, kale nga lwakugonza ebyentambula.