Poliisi ye Luweero ebakanye n’okunonyereza ku muserikale waayo eyatiddwa abazigu abatanategerekeka.
Obutemu buno bwabadde ku kyalo Lukinzi mu gombolola ye Butuntumula abatemu bwebakkakanye ku muserikale Hussein Sewaka abadde atwala poliisi ye kakinzi nebamukuba amasasi agamusse mu maka ge e Lukinzi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi, ategezezza nga poliisi bweyafunye ebimu ku bikwata ku bayinza okuba nga bakoze ettemu lino.