
Palamenti y’eggwanga ekyali mu kiyongobero oluvanyuma lw’amawulire g’okufa kw’omubaka we Okoro nga ono ye Stanly Omonya.
Omubaka y’asembye okulabikako mu kisaawe e Namboole mu ttabamiruka w’ekibiina kya NRM gyeyazirikidde nga era y’afudde atuusibwa mu ddwaliro.
Okusinziira ku mubaka omukyala ow’e Zombo Hon Kwiyucwiny Grace Freedom y’afudde kirwadde kya mutima.
Omugenzi abadde yakawangula akamyufu k’ekibiina okwesimbawo ku kifo kye Zombo nga era wakuzikibwa mu gombolola ye Wara.